FDC Yeekengedde Mu Kulonda Kwa LC

0
1080

Bannakibiina ki FDC bakalambidde ku kiteeso ky’okulonda abakulembeze ku byalo ng’abalonzi basimba nnyiriri emabega waabo abeesimbyewo. Bano bagamba nti enkola eno yadibizibwa, ate era kuba kumalako bantu ddembe lyabwe. Bongeddeko nti okusimba ennyiriri mu migongo gyabeesimbyewo kijja kulemesa abantu bangi okukuba akalulu kaabwe olw’okutya ebiddirira oluvannyuma lwokulonda ate ng’era ebafiiriza bbo ng’ekibiina.